Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Gamba abaana ba Isiraeri, obaggyeko emiggo, buli nnyumba ya bakitaabwe gumu, ku bakulu baabwe bonna ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, emiggo kkumi n'ebiri: wandiika erinnya lya buli muntu ku muggo gwe.
3Era onoowandiika erinnya lya Alooni ku muggo gwa Leevi: kubanga buli mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe omuggo gunaaba gumu.
4Era onoogitereka mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'obujulirwa, we nsisinkanira nammwe.
5Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka: nange naamalawo gye ndi okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri, kwe babeemulugunyiza.
6Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo, buli mukulu gumu, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, gy'emiggo kkumi n'ebiri: n'omuggo gwa Alooni gwali mu miggo gyabwe.
7Musa n'atereka emiggo mu maaso ga Mukama mu weema ey'obujulirwa.
8Awo olwatuuka enkya Musa n'ayingira mu weema ey'obujulirwa; era, laba, omuggo gwa Alooni ogw'omu nnyumba ya Leevi nga gumeze ne guloka ne gusansula ne gubala amaloozi amengevu.
9Musa n'afulumya emiggo gyonna eri abaana ba Isiraeri bonna ng'agiggya mu maaso ga Mukama: ne balaba, ne baddira buli muntu omuggo gwe.
10Mukama n'agamba Musa nti Zzaayo omuggo gwa Alooni mu manso g'obujulirwa, okukuumibwanga okuba akabonero eri abaana b'obujeemu; omalewo okwemulugunya kwabwe ku nze, baleme okufa.
11Musa bwe yakola bw'atyo: nga Mukama bwe yamulagira, bwe yakola.
12Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde.
13Buli anaasemberanga, anaasemberanga ku nnyumba ya Mukama, anaafanga: fenna tulizikirira.