Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Isiraeri n'abeera e Sitimu, abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu:
2kubanga baayitanga abantu okujja ku ssaddaaka za bakatonda baabwe; abantu ne balya ne bavuunamira bakatonda baabwe.
3Isiraeri ne yeegatta ne Baalipyoli: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri.
4Mukama n'agamba Musa nti Twala abakulu b'abantu bonna, obawanikire Mukama mu maaso g'enjuba ekiruyi kya Mukama kikyuke kive ku Isiraeri.
5Musa n'agamba abalamuzi ba Isiraeri nti Mutte buli muntu abasajja be abeegasse ne Baalipyoli.
6Era, laba, omu ku baana ba Isiraeri n'ajja n’aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g'ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey'okusisinkanirangamu.
7Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona bwe yakiraba, n'agolokoka wakati mu kibiina, n'addira effumu mu mukono gwe;
8n'agoberera omusajja Omuisiraeri mu kayumba, n'abafumitira ddala bombi, omusajja Omuisiraeri n'omukazi mu lubuto lwe. Awo kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo ku baana ba Isiraeri.
9N'abo abaafa kawumpuli baali obukumi bubiri mu enkumi nnya.
10Mukama n'agamba Musa nti
11Finekaasi mutabani wa Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona akyusizza obusungu bwange okuva ku baana ba Isiraeri, kubanga akwatiddwa obuggya bwange mu bo, n'okuzikiriza ne sizikiriza baana ba Isiraeri mu buggya bwange.
12Kyonoova ogamba nti Laba, mmuwa endagaano yange ey'emirembe:
13era eneebanga gy'ali, n'eri ezzadde lye erinaamuddiriranga, endagaano ey'obwakabona obutaliggwaawo; kubanga yakwatibwa obuggya olwa Katonda we, n'atangirira abaana ba Isiraeri.
14Era omusajja Omuisiraeri eyattibwa, eyattirwa awamu n'omukazi Omumidiyaani, erinnya lye Zimuli, mutabani wa Salu, omukulu w'ennyumba ya bakitaabwe mu Basimyoni.
15N'omukazi Omumidiyaani eyattibwa, erinnya lye Kozebi muwala wa Zuuli; oyo yali mutwe gw'abantu ab'omu nnyumba ya bakitaabwe mu Midiyaani.
16Mukama n'agamba Musa nti
17Beeraliikirize Abamidiyaani obatte:
18kubanga babeeraliikiriza n'enkwe zaabwe, ze baasala ne babasendasenda mu bigambo bya Pyoli ne mu bigambo bya Kozebi, muwala w'omukulu wa Midiyaani, mwannyinaabwe, eyattibwa ku lunaku olwa kawumpuli olw'ebigambo bya Pyoli.