Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
40 verses
1Ne mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lwe lunaku olw'okufuuyirako amakondeere gye muli.
2Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
3n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume,
4n'ekitundu eky'ekkumi kimu olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
5n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira:
6obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
7Ne ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; era munaabonerezanga obulamu bwammwe; temukolanga mulimu gwonna:
8naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema:
9n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu,
10ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
11embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
12Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama:
13era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema:
14n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte ku nte ekkumi n'essatu, ebitundu eby'ekkumi bibiri olwa buli ndiga ennume ku ndiga ennume zombi,
15n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga ekkumi n'abana:
16n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
17Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
18n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
19n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
20Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;
21n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
22n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
23Ne ku lunaku olw'okuna ente kkumi, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
24ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
25n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
26Ne ku lunaku olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
27n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
28n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
29Ne ku lunaku olw'omukaaga ente munaana, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
30n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
31n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
32Ne ku lunaku olw'omusanvu ente musanvu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
33n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
34n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
35Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'okukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono:
36naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
37ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, binaabanga ng'omuwendo gwabyo, ng'etteeka bwe liri:
38n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi: obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
39Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo eby'okunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe.
40Musa n’abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.