Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Mukama n'ayogera ne Musa nti
2Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obweyamo obw'omuwonge, okwewonga eri Mukama:
3aneeyawulanga n'omwenge n'ekitamiiza; tanywanga ku mwenge omukaatuufu, n'ewakubadde ekitamiiza ekikaatuufu, so tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, so talyanga zabbibu mbisi newakubadde enkalu.
4Ennaku zonna ez'okwewonga kwe talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, newakubadde ensigo newakubadde ebikuta.
5Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: okutuusa ennaku lwe zinaatuukiriranga, ze yeewongeramu eri Mukama, anaabanga mutukuvu, anaalekanga emivumbo gy'enviiri ez'oku mutwe gwe okukula.
6Ennaku zonna ze yeewongeramu eri Mukama, tasembereranga mulambo.
7Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa kitaawe, newakubadde lwa nnyina, newakubadde lwa muganda we, newakubadde lwa mwannyina, bwe banaafanga: kubanga okwewonga kwe eri Katonda kuli ku mutwe gwe.
8Ennaku zonna ez'okwewonga kwe aba mutukuvu eri Mukama.
9Era omuntu yenna bw'anaafanga amangu ennyo ng'amuliraanye naye n'ayonoona omutwe ogw'okwewonga kwe; kale anaamwanga omutwe gwe ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe ku lunaku olw'omusanvu kw'anaagumweranga.
10Ne ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri, eri kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
11awo kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira, kubanga yayonoona olw'abafu, n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.
12Era anaawonganga eri Mukama ennaku ez'okwewonga kwe, n'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango: naye ennaku ezisoose zinaabanga zifudde, kubanga okwewonga kwe kwayonooneka.
13Era lino lye tteeka ery'omuwonge, ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaatuukiriranga: anaaleetebwanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
14n'awaayo ekitone kye eri Mukama, omwana gw'endiga omulume gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannamala mwaka gumu ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ebiweebwayo olw'emirembe,
15n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwako obuweebwayo, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
16Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'a waayo ekyokebwa:
17n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukuswa: era kabona anaawangayo n'obutta obuweebwayo bwako, n'ebyokunywa byako ebiweebwayo.
18Era omuwonge anaamweranga omutwe ogw'okwewonga kwe ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ez'oku mutwe ogw'okwewonga kwe, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
19Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukuswa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukuswa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe ogw'okwewonga kwe
20awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa: oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
21Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekitone kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe, obutassaako ebyo by'ayinza okufuna: ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.
22Mukama n'ayogera ne Musa nti
23Yogera ne Alooni ne batabani be nti Bwe mutyo bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri: munaabagambanga nti
24Mukama akuwe omukisa, akukuume:
25Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa:
26Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.
27Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange ku baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.