Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, nti
2Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa.
3Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo.
4Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako.
5Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri.
6Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo:
7abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?
8Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe.
9Mukama n'agamba Musa nti
10Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo, oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama:
11mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa:
12tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo.
13Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye.
14Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi.
15Awo ku lunaku ennyumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.
16Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna: ekire kyagibikkangako, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro.
17Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.
18Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira.
19Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula.
20Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga.
21Era oluusi ekire kyabangako okusooka akawungeezi okutuusa enkya; era ekire bwe kyaggibwangako enkya ne batambula: oba bwe kyabangako emisana n'ekiro, ekire bwe kyaggibwangako, ne batambula.
22Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga.
23Baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama, era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yakuutira, olw'ekiragiro kya Mukama mu mukono gwa Musa.