Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu: N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5Awa emmere abo abamutya: Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
7Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera.
8Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu.
9Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna: Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.