Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Mumutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama, Mutendereze erinnya lya Mukama.
2Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
3Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
4Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye okusinga eggulu.
5Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu.
6Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7Ayimusa omwavu mu nfuufu, Agolokosa omunafu mu lubungo;
8Amutuuze wamu n'abalangira, Wamu n'abalangira ab'abantu be.
9Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama.