Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Mukama, ojjuukirire Dawudi Okubonaabona kwe kwonna.
2Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo:
3Mazima siriyingira mu weema ey'ennyumba yange, So siririnnya ku kiriri kyange;
4Siriwa amaaso gange okwebaka, Newakubadde enkowekowe zange Otulo;
5Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo.
6Laba, twagiwulirako mu Efulasa: Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira.
7Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye.
8Golokoka, ai Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go.
9Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu.
10Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
11Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka: Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
13Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yakiyaayaanira okukituulamu.
14Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna: Wano we nnaatuulanga; kubanga nayaayaanirawo.
15Naakiwanga omukisa mungi ekyengera kyakyo: Nakkusanga abaavu baakyo emmere.
16Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi: N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.
17Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi: Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.
18Abalabe be ndibambaza ensonyi: Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa.