Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna: Ondokole mu butuukirivu bwo.
2Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
3Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4Onziye mu kyambika kye banteze enkiso; Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
5Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima.
6Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu: Naye neesiga Mukama.
7Naasanyukanga, naajaguzanga olw'okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
8So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
9Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange.
10Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.
11Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka.
12Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa: Nfaanana ng'ekibya ekyatise.
13Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange.
14Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama: Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
15Entuuko zange ziri mu mukono gwo: Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
16Amaaso go gaakire omuddu wo: Ondokole mu kisa kyo.
17Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe: Ababi bakwatibwenga ensonyi, basirikenga mu magombe.
18Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma.
19Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
20Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
21Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
22Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go: Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
23Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.
24Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama.