Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.
3Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
4Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo.
5Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
6Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola.
7Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa.
8Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe.
10Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira.
11Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga.
12Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
13Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu.
15Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,
16Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.
17Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa.
20Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
21Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.
22Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo.