Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1ne guyimirira ku musenyu gw'ennyanja. Ne ndaba ensolo ng'eva mu nnyanja, erina amayembe kkumi n'emitwe musanvu, ne ku mayembe gaayo nga kuliko engule kkumi, ne ku mitwe gyayo amannya ag'obuvvoozi.
2N'ensolo gye nnalaba yali efaanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebya ddubu, n'akamwa kaayo ng'akamwa k'empologoma: n'ogusota gwe gwagiwa amaanyi gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.
3Ne ndaba omutwe gumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya;
4ne basinza ogusota, kubanga gwawa ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga boogera nti Ani afaanana ng'ensolo? era ani ayinza okulwana nayo?
5n'eweebwa akamwa akoogera ebikulu n'obuvvoozi; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri.
6N'eyasamya akamwa kaayo okuvvoola Katonda, okuvvoola erinnya lye, n'eweema ye, n'abatuula mu ggulu.
7N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eggwanga.
8Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli atawandiikiddwa linnya lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'endiga eyattibwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.
9Omuntu yenna bw'aba n'okutu awulire.
10Omuntu yenna bw'ayagala okunyaga, anyagibwa: omuntu yenna bw'atta n'ekitala, kimugwanira naye okuttibwa n'ekitala. Awo we wali okugumiikiriza n'okukkiriza kw'abatukuvu.
11Ne ndaba ensolo endala ng'eva mu nsi; era yalina amayembe abiri agafaanana ng'ag'omwana gw'endiga, n'eyogera ng'ogusota.
12N'ekoza obuyinza bwonna obw'ensolo ey'olubereberye mu maaso gaayo. N'esinzisa ensi n'abatuulamu ensolo ey'olubereberye, eyawona ekiwundu eky'okufa.
13N'ekola obubonero bunene, era okussa omuliro okuva mu ggulu ku nsi mu maaso g'abantu.
14N'erimba abatuula ku nsi olw'obubonero bwe yaweebwa okukola mu maaso g'ensolo; ng'egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'eba nnamu.
15N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okussa omukka, ekifaananyi eky'ensolo kiryoke kyogere, era kisse bonna abatasinza kifaananyi kya nsolo.
16N'ewaliriza bonna, abato n'abakulu, n'abagagga n'abaavu, n'ab'eddembe n'abaddu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe ogwa ddyo oba ku byenyi byabwe;
17era omuntu yenna aleme okuyinza okugula newakubadde okutunda, wabula oyo amaze okuteekebwako akabonero, erinnya ly'ensolo oba omuwendo gw'erinnya lyayo.
18Awo we wali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga gwe muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.