Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti
2Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;
3era olina okugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, so tewakoowa.
4Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye.
5Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.
6Naye kino ky'olina kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa.
7Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.
8Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti
9Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.
10Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.
11Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.
12Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti
13Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula.
14Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.
15Era naawe bw'otyo olina abakwata okuyigiriza kw'Abanikolayiti.
16Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, njija gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange.
17Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa.
18Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti
19Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.
20Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi.
21Era nnamuwa ebbanga okwenenya; n'atayagala kwenenya mu bwenzi bwe.
22Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye.
23Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima : era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.
24Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala.
25Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja.
26Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, oyo ndimuwa amaanyi ku mawanga:
27era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange;
28era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya.
29Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.