Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
11 verses
1Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era, laba, oluggi olugguddwawo mu ggulu, n'eddoboozi lye nnasooka okuwulira, ng'ery'akagombe, nga lyogera nange, ngalyogera nti Linnya okutuuka wano, nange nnaakulaga ebigwanira okubeerawo oluvannyuma lw'ebyo.
2Amangu ago nnali mu Mwoyo: era, laba, entebe ey'obwakabaka yali ng'eteekeddwawo mu ggulu, era nga waliwo eyali atudde ku ntebe;
3naye eyali atudde yali afaanana ng'ejjinja erya yasepi n'erya sadio okulabika: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyali afaanana nga zumaliidi okulabika.
4Entebe ey'obwakabaka yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya: ne ku ntebe kwaliko abakadde amakumi abiri mu bana nga batudde, nga bambadde engoye enjeru; ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu.
5Ne ku ntebe nga kuvaako okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuuka. N'ettabaaza omusanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gye myoyo omusanvu egya Katonda;
6ne mu maaso g'entebe ng'ennyanja ey'endabirwamu, efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma.
7N'ekiramu eky'olubereberye kyali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu kyalina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyali kifaanana ng'empungu ebuuka.
8N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawaatiro mukaaga, bijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda: so tebiriiko kuwummula emisana n'ekiro nga byogera nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo.
9Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'ettendo n'okwebaza oyo atudde ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe,
10abakadde amakumi abiri mu bana balivuunama mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, era balisinza oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule zaabwe mu maaso g'entebe, nga boogera nti
11Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.