Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Era ffe abalina amaanyi kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw'abo abatalina maanyi, so si kwesanyusanga fekka.
2Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw'okuzimba.
3Kubanga era ne Kristo teyeesanyusanga yekka: naye, nga bwe kyawandiikibwa, nti Ebivume byabwe abaakuvuma byagwa ku nze.
4Kubanga byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusa kw'ebyawandiikibwa.
5Era Katonda w'okugumiikiriza n'okusanyusa abawe mmwe okulowoozanga obumu mwekka na mwekka mu ngeri ya Kristo Yesu:
6mulyoke muwenga ekitiibwa Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'akamwa akamu.
7Kale musembezaganyenga mwekka na mwekka, nga Kristo bwe yabasembeza mmwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.
8Kubanga njogera nti Kristo yali muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunyweza ebyasuubizibwa eri bajjajja,
9era ab'amawanga balyoke bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikibwa nti Kye nnaavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nnaayimbiranga erinnya lyo.
10Era nate ayogera nti Musanyukenga, mmwe ab'amawanga, wamu n'abantu be.
11Era nate nti Mutenderezenga Mukama, mmwe ab'amawanga mwenna; Era ebika byonna bimutenderezenga.
12Era nate Isaaya ayogera nti Waliba ekikolo kya Yese, Era ayimirira okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.
13Era Katonda ow'okusuubirwa abajjuze mmwe essanyu lyonna n’emirembe olw'okukkiriza, mmwe musukkirirenga mu kusuubira, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu.
14Era nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna, nga muyinza n'okubuuliriragana mwekka na mwekka.
15Naye nneeyongedde okuguma katono okubawandiikira, nga kubajjukiza nate olw'ekisa kye nnaweebwa Katonda
16nze okubeeranga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, ssaddaaka y'ab'amawanga eryoke esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
17Kale okwenyumiriza ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda.
18Kubanga siryaŋŋanga kwogera kigambo kyonna wabula Kristo bye yankoza, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo ne mu kikolwa,
19mu maanyi g'obubonero n’eby'amagero, mu maanyi g'Omwoyo Omutukuvu; bwe kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukiriza enjiri ya Kristo;
20naye nga njagala ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, si awayatulibwa erinnya lya Kristo nnemenga okuzimba ku musingi gwa beene;
21naye nga bwe kyawandiikibwa nti Baliraba abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera.
22Era kyennavanga nziyizibwa emirundi emingi okujja gye muli;
23naye kaakati, kubanga sikyalina bbanga mu nsi zino, era kubanga, okuva mu myaka mingi nnali njagala okujja gye muli,
24we ndigendera mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, mmwe mumperekereko okuntuusa eyo, bwe ndimala okubalabako n'okusanyukirako awamu nammwe);
25naye kaakati ŋŋenda e Yerusalemi, okuweereza abatukuvu.
26Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okusolooleza ebintu abaavu ab'omu batukuvu abali e Yerusaalemi.
27Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga basseekimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza nate eby'omubiri.
28Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwasiza ddala ebibala ebyo ndivaayo, okuyita ewammwe okugenda e Supaniya.
29Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli ndijja mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiridde.
30Era mbeegayiridde, ab'oluganda, ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo, n'olw'okwagala kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nange mu kunsabira Katonda;
31ndyoke mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu;
32ndyoke njije gye muli n'essanyu olw'okwagala kwa Katonda, mpummulire wamu nammwe.
33Era Katonda ow'emirembe abeerenga nammwe mwenna. Amiina.