Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Naye ggwe yogeranga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu:
2abasajja abakadde balemenga kuba batamiivu, nga balimu ekitiibwa, nga beegendereza nga balina obulamu olw'okukkiriza, olw'okwagala, olw'okugumiikiriza:
3n'abakazi abakadde bwe batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, si abawaayiriza, so si abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebirungi;
4balyoke beegenderezesenga abakazi abato okwagalanga babbaabwe, okwagalanga abaana baabwe,
5okwegenderezanga, okuba n'obulongoofu, okukolanga emirimu mu nnyumba zaabwe, okuba n'ekisa, okugonderanga babbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvumibwa:
6n'abavubuka bwe batyo obabuuliriranga okwegendereza:
7mu bigambo byonna nga weeraganga ng'ekyokulabirako eky'ebikolwa ebirungi; mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, okubaamu ekitiibwa,
8ebigambo eby'obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo alyoke akwatibwenga ensonyi, nga talina kibi kya kutwogerako.
9Buuliriranga abaddu okugonderanga bakama baabwe, okusiimibwanga mu byonna, obutayombanga;
10obutabbanga, naye okulaganga obwesigwa obulungi bwonna; balyoke bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waffe Katonda mu byonna.
11Kubanga ekisa kya Katonda kirabise, nga kireetera abantu bonna obulokozi,
12nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, tulyoke tubeerenga abalamu mu mirembe egya kaakano mu kwegendereza n'obutuukirivu n'okutya Katonda,
13nga tulindirira essuubi ery'omukisa n'okulabika kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;
14eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwonna, era yeerongooseze eggwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.
15Yogeranga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonna, Omuntu yenna takunyoomanga.