Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
2Mukama asunguwalidde nnyo bajjajjammwe.
3Kyova obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama.
4Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi; so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama.
5Bajjajjammwe bali ludda wa? ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna?
6Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.
7Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
8Natunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'ennyuma we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru.
9Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri.
10Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.
11Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.
12Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu?
13Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu.
14Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.
15N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.
16Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.
17Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.
18Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana.
19Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.
20Mukama n'anjolesa abaweesi bana.
21Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.