Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.
2Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.
3Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.
4Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.
5Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
6Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.
7N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
8Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala.
9Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.
10Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga.
11Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.
12Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.