Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi.
2Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.
3Awo olulituuka omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula.
4Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe:
5naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange.
6N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.
7Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.
8Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo.
9N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.