Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.
2Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?
3Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika.
4N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika.
5Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo.
6Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti
7Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde.
8Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi.
9Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.
10Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.