Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo.
2Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu;
3ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
4Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange?
5Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.
6Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo.
7N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulatambula mu nsi.
8Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono.
9Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
10Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni;
11era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
12omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama:
13oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.
14N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama.
15Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.