Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga!
2Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo.
3Abakungu baamu wakati mu kyo mpologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu misege gya kiro; tebafissaawo kintu okutuusa enkya.
4Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo.
5Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi.
6Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu so tewali atuulamu.
7Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna.
8Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw'obuggya bwange gulizirya.
9Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu.
10Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya.
11Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu.
12Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama.
13Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera eby'obulimba so n'olulimi olukuusa terulirabika mu kamwa kaabwe kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.
14Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi.
15Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri.
16Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya; ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira.
17Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba.
18Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali.
19Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna.
20Mu biro ebyo ndibayingiza, ne mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.