Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Ne batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri, (kubanga ye yali omubereberye; naye kubanga yayonoona ekiriri kya kitaawe, eby'okuzaalibwa kwe okw'olubereberye batabani ba Yusufu mutabani wa Isiraeri kyebaava babiweebwa; so taviibwako okubala amannya ng'okuzaalibwa okw'olubereberye bwe kwali.
2Kubanga Yuda yasinga baganda be, era mu ye mwe mwava omulangira; naye eby'okuzaalibwa okw'olubereberye byali bya Yusufu:)
3batabani ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri; Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi.
4Batabani ba Yoweeri; Semaaya mutabani we, Gogi mutabani we, Simeeyi mutabani we;
5Mikka mutabani we, Leyaya mutabani we, Baali mutabani we;
6Beera mutabani we, Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli gwe yatwala nga musibe: ye yali omukulu w'Abalewubeeni.
7Ne baganda be ng'enda zaabwe bwe zaali, okuzaalibwa kwabwe bwe kwabalibwa; omukulu Yeyeri, ne Zekkaliya,
8ne Bera mutabani wa Azazi, mutabani wa Sema, mutabani wa Yoweeri eyabeeranga mu Aloweri, okutuusa e Nebo ne Baalumyoni:
9n'ebuvanjuba yabeeranga okutuuka awayingirirwa mu ddungu okuva ku mugga Fulaati: kubanga ebisibo byabwe nga byeyongedde mu nsi ya Gireyaadi.
10Awo ku mirembe gya Sawulo ne balwana n’abakaguli, ne battibwa n'omukono gwabwe ne babeeranga mu weema zaabwe okubuna ensi yonna eri ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Gireyaadi.
11Awo batabani ba Gaadi ne babeeranga okuboolekera mu nsi y'e Basani okutuusa ku Saleka:
12Yoweeri omukulu, ne Safamu ow'okubiri, ne Yanayi, ne Safati mu Basani:
13ne baganda baabwe ab'omu nda za bajjajjaabwe; Mikayiri, ne Mesullamu, ne Seeba, ne Yolayi, ne Yakani, ne Ziya, ne Eberi, musanvu.
14Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi; Abo be baali batabani ba Abikayiri mutabani wa Kuuli, mutabani wa Yalowa, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Mikayiri, mutabani wa Yesisayi, mutabani wa Yakudo, mutabani wa Buzi;
15Aki mutabani wa Abudyeri, mutabani wa Guni, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe.
16Ne babeeranga mu Gireyaadi mu Basani, ne mu bibuga byako, ne mu byaIo byonna ebiriraanye Saloni, okutuuka ku nsalo zaabyo.
17Abo bonna baabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku mirembe gya Yosamu kabaka wa Yuda, ne ku mirembe gya Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri.
18Batabani ba Lewubeeni, n'aba Gaadi, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, eky'abasajja abazira, abasajja abaayinza okukwata engabo n'ekitala, n'okulasa n'emitego, era ab'amagezi okulwana, baali obukumi buna mu enkumi nnya mu lusanvu mu nkaaga, abaayinza okutabaala.
19Ne balwana n'Abakaguli, ne Yetuli, ne Nafisi, ne Nodabu.
20Ne bayambwa nga balwana nabo, Abakaguli ne bagabulwa mu mukono gwabwe ne bonna abaali nabo: kubanga baakaabirira Katonda mu lutalo, n'akkiriza okwegayirira kwabwe; kubanga baamwesiga.
21Ne banyaga ebisibo byabwe; ku ŋŋamira zaabwe obukumi butaano, ne ku ndiga obusiriivu bubiri mu obukumi butaano, ne ku ndogoyi enkumi bbiri, ne ku bantu kasiriivu.
22Kubanga bangi abaagwa nga battiddwa kubanga olutalo lwava eri Katonda. Ne babeeranga mu kifo kyabwe okutuuka ku kutwalibwa.
23Awo abaana b'ekitundu ky'ekika kya Manase ne babeeranga mu nsi: ne bayala okuva ku Basani ne batuuka ku Baalukerumooni ne Seniri n'olusozi Kerumooni.
24Era bano be baali emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe; Eferi, ne Isi, ne Eryeri, ne Azulyeri, ne Yeremiya, ne Kodaviya, ne Yakudyeri, abasajja ab'amaanyi abazira, abaatiikirivu, emitwe gy'ennyumba za bajjajjaabwe.
25Ne basobya Katonda wa bajjajjaabwe, ne bagenda nga benda okugoberera bakatonda b'amawanga ag'omu nsi, Katonda be yazikiririza mu maaso gaabwe.
26Awo Katonda wa Isiraeri n'akubiriza omwoyo gwa Puli kabaka w'e Bwasuli n'omwoyo gwa Tirugasupiruneseri kabaka w’e Bwasuli, n'abatwala n'abaggyayo, Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase n'abaleeta e Kala ne Kaboli, ne Kaala, n'eri omugga Gozani, ne leero.