Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Kubanga ssaagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, bajjajjaffe bonna bwe baali wansi w'ekire, era bonna bwe baayita mu nnyanja;
2era bonna bwe baabatizibwa eri Musa mu kire ne mu nnyanja;
3era bonna ne balyanga emmere emu ey'omwoyo; era bonna ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo:
4kubanga baanywanga mu lwazi olw'omwoyo olwabagobereranga: n'olwazi olwo lwali Kristo.
5Naye bangi ku bo Katonda teyabasiima: kubanga baazikiririzibwa mu ddungu.
6Naye ebyo byali byakulabirako gye tuli, tulemenga okwegomba ebibi, era nga bo bwe beegomba.
7So temubanga basinza ba bifaananyi, ng'abamu ku bo: nga bwe kyawandiikibwa nti Abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.
8Era tetwendanga, ng'abamu ku bo bwe baayenda, ne bagwa ku lunaku olumu obukumi bubiri mu enkumi ssatu.
9Era tetukemanga Mukama waffe, ng'abamu ku bo bwe baakema, emisota egyo ne gibatta.
10Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.
11Naye ebyo byababaako abo okubeeranga ebyokulabirako; era byawandiikibwa olw'okutulabulanga ffe abatuukiddwako enkomerero z'emirembe.
12Kale alowooza ng'ayimiridde yeekuumenga aleme okugwa.
13Siwali kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n'okukemebwa era anassangawo n'obuddukiro; mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.
14Kale, baganda bange, muddukenga okusinza ebifaananyi.
15Mbagamba ng'abalina amagezi; mulowooze kye njogera.
16Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, si kwe kusseekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo?
17kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.
18Mulabe Isiraeri ow'omubiri: abalya ssaddaaka tebassa kimu na kyoto?
19Kale njogera ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?
20Naye njogera ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so si eri Katonda: nange ssaagala mmwe kubeeranga abasseekimu ne balubaale.
21Temuyinza kunywa ku kikompe kya Mukama waffe ne ku kikompe kya balubaale: temuyinza kugabana ku mmeeza ya Mukama waffe ne ku mmeeza ya balubaale.
22Oba Mukama waffe tumukwasa obuggya? ffe tumusinga amaanyi?
23Byonna birungi; naye ebisaana si byonna. Byonna birungi, naye ebizimba si byonna.
24Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.
25Buli kye batundanga mu katale, mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo;
26kubanga ensi ya Mukama waffe, n'okujjula kwayo.
27Omu ku abo abatakkiriza bw'abayitanga, nammwe bwe mwagalanga okugenda; ekiteekebwanga mu maaso gammwe mukiryanga, nga temubuuzizza kigambo olw'omwoyo.
28Naye omuntu bw'abagambanga nti Kino kyaweebwa okubeera ssaddaaka, temukiryanga ku lw'oyo abuulidde, n'olw'omwoyo:
29bwe njogera omwoyo, si gugwo ggwe naye gwa mulala; kubanga eddembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gw'omulala?
30Nze bwe ndya n'okwebaza, kiki ekinvumya olw'ekyo kye nneebaza?
31Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda.
32Temuleetanga ekyesittaza eri Abayudaaya, newakubadde eri Abayonaani, newakubadde eri ekkanisa ya Katonda:
33era nga nange bwe nsanyusa bonna mu byonna, nga sinoonya magoba gange nze, wabula ag'abangi, balyoke balokoke.