Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Ssiri wa ddembe? ssiri mutume? ssaalaba Yesu Mukama waffe? mmwe temuli mulimu gwange mu Mukama waffe?
2Oba nga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe: kubanga mmwe kabonero k'obutume bwange mu Mukama waffe.
3Bwe mpoza bwe nti eri abo abankemereza.
4Tetulina buyinza okulyanga n'okunywanga?
5Tetulina buyinza okutwalanga omukazi ow'oluganda awamu naffe, era ng'abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe, ne Keefa.
6Oba nze nzekka ne Balunabba tetulina buyinza obutakolanga mirimu?
7Ani agenda okutabaala yonna yonna n'atabaaza ebintu bye ye? ani asimba olusuku n'atalya ku mmere yaamu? oba ani alunda ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo?
8Ebyo njogera bya buntu? oba era n'amateeka tegoogera bwe gatyo?
9Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti Togisibanga kamwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bya nte?
10oba ayogera ku lwaffe fekka? Kubanga kyawandiikibwa ku lwaffe: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwako.
11Oba nga ffe twabasigamu eby'omwoyo, kya kitalo ffe bwe tulikungula ebyammwe eby'omubiri?
12Oba nga abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetusinga bo? Naye tetwakoza buyinza obwo; naye tugumiikiriza byonna, tulemenga okuleeta ekiziyiza enjiri ya Kristo.
13Temumanyi ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana n'ekyoto?
14Era ne Mukama waffe bw'atyo yalagira ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.
15Naye nze sibikozanga ebyo n'ekimu: so siwandiise ebyo kiryoke kinkolerwenga nze bwe kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenna okufuula okwenyumiriza kwange okw'obwereere.
16Kubanga bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.
17Kuba oba nga nkola bwe ntyo n'okwagala, mbeera n'empeera: naye oba nga ssikola na kwagala, nnateresebwa obuwanika.
18Kale mpeera ki gye nnina? Mbuulira enjiri okugifuula ey'obwereere, nneme okukoleza ddala obuyinza bwange mu njiri.
19Kuba newakubadde nga ndi wa ddembe eri bonna, nneefuula muddu eri bonna, ndyoke nfunenga abangi.
20N'eri Abayudaaya nnafuuka nga Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nnafuuka ng'afugibwa amateeka, nze kennyini nga sifugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;
21eri abatalina mateeka nnafuuka ng'atalina mateeka, si butaba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga abatalina mateeka.
22Eri abanafu nnafuuka munafu, nfunenga abanafu: eri bonna nfuuse byonna, mu byonna byonna ndyoke ndokolenga abamu.
23Era nkola byonna olw'enjiri, ndyoke nzisenga kimu mu yo.
24Temumanyi ng'abadduka mu kuwakana baddukanira ddala bonna, naye aweebwako empeera omu? Muddukenga bwe mutyo mulyoke muweebwe.
25Era buli muntu awakana yeegendereza mu byonna. Kale bo bakola bwe batyo balyoke baweebwe engule eryonooneka, naye ffe etayonooneka.
26Nze kyenva nziruka bwe nti, si ng'atamanyi; nnwana bwe nti si ng'akuba ebbanga:
27naye nneebonereza omubiri gwange era ngufuga: mpozzi, nga mmaze okubuulira abalala, nze nzekka nneme okubeera atasiimibwa.