Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaana abatambuze ab'omu Ponto, Ggalatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya,
2nga bwe yasooka okutegeera Katonda Kitaffe, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwako omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.
3Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n'essuubi eddamu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu,
4tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu,
5amaanyi ga Katonda be gakuuma olw'okukkiriza okufuna obulokozi obweteeseteese okubikkulibwa mu biro eby'enkomerero.
6Obwo bwe mujagulizaamu, newakubadde nga mwanakuwazibwa mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono kaakano, oba nga kibagwanira,
7okugezebwa kw'okukkiriza kwammwe okusinga omuwendo ezaabu eggwaawo, newakubadde ng'egezebwa mu muliro, kulyoke kulabike okuleeta ettendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa:
8gwe mwagala nga temunnaba kumulaba: gwe mutalaba kaakano naye mumukkiriza, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa:
9nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw'obulamu.
10Eby'obulokozi obwo bannabbi abaalagulanga eby'ekisa ekyali kigenda okujja gye muli baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga:
11nga banoonya ebiro bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibigoberera.
12Nabo babikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe baaweereza ebyo bye mwakajja mubuulirwe kaakano abo abaababuulira enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumibwa okuva mu ggulu; bamalayika bye beegomba okulingiza.
13Kale musibenga ebimyu by'amagezi gammwe, mutamiirukukenga, musuubirirenga ddala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikkulibwa;
14ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'edda okw'omu butamanya bwammwe:
15naye ng'oyo eyabayita bw'ali omutukuvu era nammwe mubeerenga batukuvu mu mpisa zonna;
16kubanga kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.
17Era bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisa mu biro byammwe eby'okuba abayise:
18nga mumanyi nga temwanunulibwa na bintu ebiggwaawo, ffeeza oba zaabu, mu mpisa zammwe ezitaliimu ze mwaweebwa bajjajjammwe;
19wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo:
20eyategeerebwa edda ensi nga tezinnatondebwa, naye n'alabisibwa ku nkomerero y'ebiro ku lwammwe,
21abakkiriza ku bubwe Katonda eyamuzuukiza mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okukkiriza kwammwe n'okusuubira biryoke bibeerenga mu Katonda.
22Kubanga mumaze okwetukuza obulamu bwammwe mu kugondera amazima olw'okwagalanga ab'oluganda okutaliimu bunnanfuusi, mwagalanenga mu mutima n'okufuba okungi:
23bwe mwazaalibwa omulundi ogw'okubiri, si na nsigo eggwaawo, wabula eteggwaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.
24Kubanga Omubiri gwonna guli ng'omuddo, N'ekitiibwa kyagwo kyonna kiri ng'ekimuli ky'omuddo. Omuddo guwotoka ekimuli ne kigwa:
25Naye ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n'emirembe. Era ekyo kye kigambo eky'enjiri eky'abajulirwa.