Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Kale muteekenga wala obubi bwonna n'obukuusa bwonna n'obunnanfuusi n'obuggya n'okwogera obubi kwonna,
2ng'abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga amata ag'omwoyo agataliimu bulimba; galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu
3oba nga rnwalega ku Mukama waffe bw'ali omulungi:
4nga mujja eri oyo, ejjinja eddamu, eryagaanibwa abantu, naye eri Katonda ddonde, lya muwendo mungi,
5era nammwe ng'amayinja amalamu muzimbibwa ennyumba ey'omwoyo okubeeranga bakabona abatukuvu okuwangayo ssaddaaka ez'omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo.
6Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja ekkulu ery'oku nsonda, eddonde, ery'omuwendo omungi: Era amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
7Kale eri mmwe abakkiriza omuwendo mungi: naye eri abatakkiriza, Ejjinja abazimbi lye baagaana, eryo lye lyafuuka omutwe ogw'oku nsonda;
8era Ejjinja eryesittalwako, era olwazi olusuula; kubanga beesittala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekerwawo.
9Naye mmwe muli ggwanga ddonde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu ba nvuma, mulyoke mubuulirenga ebirungi by'oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo:
10edda abataali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda: abaali batasaasirwa, naye kaakano musaasiddwa.
11Abaagalwa, mbeegayirira ng'abayise n'abatambuze, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu;
12nga mulina empisa zammwe mu b'amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng'abakola obubi, olw'ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw'okulabirwamu.
13Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waffe: oba kabaka nga ye asinga bonna;
14oba abaamasaza, nga ye b'atuma olw'okukangavvulanga abakola obubi, n'olw'okusiimanga abakola obulungi.
15Kubanga Katonda bw'ayagala bw'atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obulungi:
16ng'ab'eddembe, so si ng'abalina eddembe lyammwe olw'okukisa obubi, naye ng'abaddu ba Katonda.
17Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.
18Abaweereza, mugonderenga bakama bammwe mu kutya kwonna, si balungi bokka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe.
19Kubanga kino kye kisiimibwa, omuntu bw'agumiikiriza okulumwa olw'okujjukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awatali nsonga.
20Kubanga bwe mukola obubi ne mukubibwa empi, bwe muligumiikiriza, ttendo ki? naye bwe mukola obulungi ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikiriza, ekyo kye kisiimibwa eri Katonda.
21Kubanga ekyo kye mwayitirwa, kubanga era Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, ng'abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye:
22ataakola kibi, newakubadde obukuusa tebwalabika mu kamwa ke:
23bwe yavumibwa, ataavuma nate; bwe yabonyaabonyezebwa, ataakanga; naye yeewaayo eri oyo asala omusango ogw'ensonga:
24eyeetikka ye yennyini ebibi byaffe mu mubiri gwe ku muti, ffe nga tumaze okufa ku bibi, tulyoke tubeerenga abalamu eri obutuukirivu; okukubibwa kw'oyo kwe kwabawonya.
25Kubanga mwali mukyama ng'endiga; naye kaakano mukomyewo eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwammwe.