Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe;
2bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya.
3Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye;
4naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.
5Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini:
6nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.
7Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.
8Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu:
9abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.
10Kubanga Ayagala okwegomba obulamu, N'okulaba ennaku ennungi, Aziyizenga olulimi lwe mu bubi, N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa:
11Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi; Anoonyenga emirembe, agigobererenga.
12Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.
13Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi?
14Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisa kwabwe, so temweraliikiriranga;
15naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe; nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya:
16nga mulina omwoyo omulungi; olw'ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibwenga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez'omu Kristo.
17Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukola obulungi okusinga nga mukola obubi.
18Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo;
19era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera,
20edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, emazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana:
21era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo,
22ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.