Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika eri mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe.
2Twebaza Katonda ku lwammwe mwenna ennaku zonna, nga tuboogerako mu kusaba kwaffe;
3nga tujjukira bulijjo omulimu gwammwe ogw'okukkiriza, n'okufuba okw'okwagala, n'okugumiikiriza okw'essuubi lya Mukama waffe Yesu Kristo, mu maaso ga Katonda era Kitaffe;
4nga tumanyi, ab'oluganda abaagalwa Katonda, okulondebwa kwammwe,
5kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.
6Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu ery'Omwoyo Omutukuvu;
7mmwe n'okuba ne muba ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Makedoni ne mu Akaya.
8Kubanga gye muli ye yava eddoboozi ly'ekigambo kya Mukama waffe, si mu Makedoni ne mu Akaya yokka, naye mu buli kifo okukkiriza kwammwe eri Katonda kwabuna; bwe tutyo ne tutabaako kigambo kye twetaaga okwogera.
9Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,
10n'okulindiriranga Omwana we okuva mu ggulu, gwe yazuukiza mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obugenda okujja.