Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Bakama baabwe, mugabirenga abaddu bammwe eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumanyi nga era nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.
2Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza;
3nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa;
4ndyoke nkyolesenga, nga bwe kiŋŋwanidde okwogera.
5Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mweguliranga ebbanga.
6Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.
7Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebifa gye ndi byonna:
8gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli era asanyuse emyoyo gyammwe;
9wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza ebifa wano byonna.
10Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw'alijja gye muli, mumwanirizanga),
11ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga.
12Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.
13Kubanga ndi mujulirwa we ng'alina emirimu mingi ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli.
14Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.
15Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe.
16Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomere ne mu kkanisa ey'Abalawodikiya; era nammwe musome eriva mu Lawodikiya.
17Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza.
18Kuno kwe kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.