Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate.
2Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu.
3Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;
4buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa,
5si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;
6alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala.
7Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu.
8Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.
9Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga;
10kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;
11era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;
12mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.
13Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
15Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
16Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:
17naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
18Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.