Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
28 verses
1Naye eby'entuuko n'ebiro, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandiikirwa.
2Kubanga mwekka mumanyidde ddala ng'olunaku lwa Mukama waffe lujja ng'omubbi ekiro, bwe lutyo.
3Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.
4Naye mmwe, ab'oluganda, temuli mu kizikiza, olunaku luli okubasisinkaniriza ng'omubbi:
5kubanga mmwe mwenna muli baana ba kutangaala, era muli baana ba musana: tetuli ba kiro newakubadde ab'ekizikiza;
6kale nno tulemenga okwebaka ng'abalala, naye tutunulenga tulemenga okutamiira.
7Kubanga abeebaka beebaka kiro; n'abatamiira batamiira kiro.
8Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.
9Kubanga ffe Katonda teyatuteekerawo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo,
10eyatufiirira ffe, bwe tutunula oba bwe twebaka tulyoke tubeere abalamu wamu naye.
11Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu munne, era nga bwe mukola.
12Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira;
13n'okubassaagamu ekitiibwa ennyo nnyini mu kwagala olw'omulimu gwabwe. Mubeerenga n'emirembe mu mmwe.
14Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula bulungi, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga eri bonna.
15Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
16Musanyukenga ennaku zonna;
17musabenga obutayosa;
18mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga ekyo Katonda ky'abaagaliza mu Kristo Yesu gye muli.
19Temuzikizanga Mwoyo;
20temunyoomanga bunnabbi;
21mugezengako ku bigambo byonna; munywerezenga ddala ekirungi;
22mwewalenga buli ngeri ya bubi.
23Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
24Abayita mwesigwa, n'okukola ye alikola.
25Ab'oluganda, mutusabirenga.
26Mulamuse ab'oluganda bonna n'okunywegera okutukuvu.
27Mbalayiza Mukama waffe okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonna.
28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga wamu nammwe.