Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo;
2ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera;
4naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona kwe muzibiikiriza;
5ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera:
6oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya,
7era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab'obuyinza bwe,
8mu muliro ogwaka, ng'awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu:
9abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge,
10bw'alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.
11Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza;
12erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye, ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.