Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Kale okusooka byonna mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebazanga bikolebwenga ku lw'abantu bonna;
2ku lwa bakabaka n'abakulu bonna; tulyoke tubeerenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonna ne mu kwegendereza.
3Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g'Omulokozi waffe Katonda,
4ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima.
5Kubanga waliwo Katonda omu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu omu, omuntu Kristo Yesu,
6eyeewaayo abe omutango olwa bonna; okutegeeza kulibaawo mu ntuuko zaakwo:
7nze kwe nnateekerwa omubuulizi era omutume (njogera mazima, ssirimba), omuyigiriza w'amawanga olw'okukkiriza n'amazima.
8Kyenva njagala abasajja basabenga mu buli kifo, nga bayimusa emikono emitukuvu, awatali busungu na mpaka.
9Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi;
10naye (nga bwe kisaanira abakazi abeeyita abatya Katonda) n'ebikolwa ebirungi.
11Omukazi ayigenga mu bukkakkamu mu kugonda kwonna.
12Naye omukazi mmugaanyi okuyigirizanga, newakubadde okufuganga omusajja, naye okubeeranga mu bukkakkamu.
13Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, oluvannyuma Kaawa;
14era Adamu si ye yalimbibwa, naye omukazi oli ye yalimbibwa n'aba mu kwonoona:
15naye anaalokokanga mu kuzaala, bwe banaanyiikiranga mu kukkiriza n'okwagala n'obutukuvu awamu n'okwegendereza.