Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
20 verses
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waffe bwe kuli n'okwa Kristo Yesu essuubi lyaffe;
2eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza: ekisa, okusaasira, nemirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
3Nga bwe nnakubuulirira okubeera mu Efeso, bwe nnali nga ŋŋenda e Makedoni, olagirenga abamu obutayigirizanga bulala,
4newakubadde okulowoozanga enfumo n'ebigambo by'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kukkiriza; bwe nkola bwe ntyo ne kaakano.
5Naye enkomerero y'ekiragiro kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu n'omwoyo omulungi n'okukkiriza okutalina bukuusa:
6ebyo abamu babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebitaliimu;
7nga baagala okuba ng'abayigiriza b'amateeka, nga tebategeera bye boogera newakubadde bye bakakasa.
8Naye tumanyi ng'amateeka malungi, omuntu bw'agasoma ng'amateeka bwe gali,
9ng'amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu,
10abenzi, abalya ebisiyaga, abanyazi b'abantu, abalimba, abalayirira obwereere, n'ebirala byonna ebiwakana n'okuyigiriza okw'obulamu;
11ng'enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nnateresebwa nze.
12Mmwebaza oyo eyampa amaanyi, ye Kristo Yesu Mukama waffe, kubanga yandowooza nga ndi mwesigwa, bwe yanteeka mu buweereza,
13olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza;
14ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu.
15Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye;
16naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow'olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo.
17Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, ataggwaawo, atalabika, Katonda omu, aweebwenga ettendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
18Ekiragiro kino nkuteresa, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya bannabbi bwe byali bye baakwogerako edda, olyoke olwanirenga mu byo olutalo olulungi,
19ng'onyweza okukkiriza n'omwoyo omulungi, abalala gwe basindika eri ne bamenyekerwa okukkiriza kwabwe:
20mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.