Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Ebisigaddeyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waffe, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe;
2era tulokoke eri abantu abatalina magezi, ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, anaabakuumanga eri omubi.
4Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga.
5Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
6Era tubalagira, ab'oluganda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.
7Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalemwa kutambula bulungi mu mmwe;
8so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe:
9si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga.
10Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.
11Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.
12Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo.
13Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi.
14Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
15So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.
16Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
17Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika.
18Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.