Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Kale ggwe, mwana wange, beeranga wa maanyi mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.
3Bonaboneranga wamu nange ng'omulwanyi omulungi owa Kristo Yesu.
4Siwali mulwanyi bw'atabaala eyeeyingiza mu mitawaana egy'obulamu buno, alyoke asiimibwe eyamuwandiika okuba omulwanyi.
5Naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.
6Omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala.
7Lowooza kye njogedde; kubanga Mukama waffe anaakuwanga okutegeera mu bigambo byonna.
8Jjukira Yesu Kristo, nga yazuukira mu bafu, ow'omu zzadde lya Dawudi, ng'enjiri yange bw'eyogera:
9gye mbonaboneramu okutuusa ku kusibibwa, ng'akola obubi; naye ekigambo kya Katonda tekisibibwa.
10Kyenva ngumiikiriza byonna olw'abalonde, era nabo balyoke bafune obulokovu obuli mu Kristo Yesu, wamu n'ekitiibwa ekitaggwaawo.
11Ekigambo kino kyesigwa nti Kuba oba nga twafa naye, era tulibeera balamu naye
12oba nga tugumiikiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ffe:
13oba nga tetukkiriza, ye abeera mwesigwa kubanga tayinza kwerimba.
14Ebyo obibajjukizanga, ng'obakuutirira mu maaso ga Mukama waffe, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira.
15Fubanga okweraga ng'osiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, ayisa wakati ekigambo eky'amazima.
16Naye ebigambo ebitaliimu ebitali bya ddiini obyewalanga: kubanga baliyitirira mu butatya Katonda,
17n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo: ku abo ye Kumenayo ne Fireeto;
18kubanga baakyama mu mazima, nga boogera ng'okuzuukira kwamala okubeerawo, era waliwo abantu be baavuunikirira okukkiriza kwabwe.
19Naye omusingi gwa Katonda omugumu gubeerawo, nga gulina akabonero kano nti Mukama waffe amanyi ababe: era nti Yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula erinnya lya Mukama waffe.
20Naye mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na bya ffeeza byokka, naye era n'eby'emiti n'eby'ebbumba; n'ebirala eby'ekitiibwa, n'ebirala ebitali bya kitiibwa
21Kale omuntu bwe yeerongoosaako ebyo, anaabeeranga ekintu eky'ekitiibwa, ekyatukuzibwa, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezebwa buli mulimu omulungi.
22Naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye ogobereranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe awamu n'abo abamusaba Mukama waffe mu mwoyo omulongoofu.
23Naye empaka ez'obusirusiru era ez'obutayigirizibwa ozirekanga, ng'omanyi nga zizaala okulwana.
24Naye omuddu wa Mukama waffe tekimugwanira kulwananga, wabula okubeeranga omukkakkamu eri bonna, omuyigiriza, omugumiikiriza,
25abuulirira n'obuwombeefu abawakanyi, mpozzi oba nga Katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera ddala amazima,
26era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa Setaani, oyo ng'amaze okubakwasa okukolanga okwagala kwe.