Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvannyuma ebiro eby'okulaba ennaku birijja.
2Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu,
3abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi,
4ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda;
5nga balina ekifaananyi ky'okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo: era nabo obakubanga amabega.
6Kubanga ku abo be bantu abasensera mu nnyumba ne banyaga abakazi abasirusiru abazitoowererwa ebibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu,
7abayiga bulijjo, ne batayinza ennaku zonna kutuuka ku kutegeerera ddala mazima.
8Era nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa, ne bano bwe batyo baziyiza amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kukkiriza.
9Naye tebalyeyongerako kuyitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna, era ng'obwa bali bwe bwali.
10Naye gwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange,
11okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna.
12Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez'okutya Katonda banaayigganyizibwanga.
13Naye abantu ababi n'abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.
14Naye ggwe beeranga mu ebyo bye wayiga n'otegeerera ddala, ng'omanyi abakuyigiriza bwe bali;
15era ng'okuva mu buto wamanyanga ebyawandiikibwa ebitukuvu ebiyinza okukugeziwaza okuyingira mu bulokovu olw'okukkiriza okuli mu Kristo Yesu.
16Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu;
17omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng'alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.