Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okulabika kwe n'obwakabaka bwe;
2buuliranga ekigambo; kubiririzanga mu bbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikiriza kwonna n'okuyigiriza.
3Kubanga ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli;
4baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo.
5Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.
6Kubanga nze kaakano nfukibwa, n'ebiro eby'okuteebwa kwange bituuse.
7Nnwanye okulwana okulungi, olugendo ndutuusizza, okukkiriza nkukuumye:
8ekisigaddeyo, enterekeddwa engule ey'obutuukirivu Mukama waffe gy'alimpeera ku lunaku luli, asala emisango egy'ensonga: so si nze nzekka naye era ne bonna abaagala okulabika kwe.
9Fuba okujja gye ndi mangu:
10kubanga Dema yandekawo, ng'ayagala emirembe egya kaakano, n'agenda e Ssessaloniika; Kulesuke e Ggalatiya, Tito e Dalumatiya.
11Lukka ye ali awamu nange yekka. Twala Makko, omuleete wamu naawe; kubanga angasa olw'okuweereza.
12Naye Tukiko nnamutuma mu Efeso.
13Ekyambalo kye nnaleka mu Tulowa ewa Kappo, bw'oliba ng'ojja, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, biri eby'amaliba.
14Alegezanda omuweesi w'ebikomo yankola obubi bungi: Mukama waffe alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byali:
15oyo naawe omwekuumanga; kubanga yaziyiza nnyo ebigambo byaffe.
16Mu kuwoza kwange okw'olubereberye siwali eyannyamba, naye bonna banjabulira: nsaba baleme okukibalirwa.
17Naye Mukama waffe yayimirira kumpi nange, n’ampa amaanyi; nze ndyoke ntuukirize kye mbuulira, era ab'amawanga bonna balyoke bawulire: ne ndokoka mu kamwa k'empologoma.
18Mukama waffe anandokolanga mu buli kikolwa ekibi, era anankuumanga okutuusa ku bwakabaka bwe obw'omu ggulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
19Lamusa Pulisika ne Akula, n'ennyumba ya Onesifolo.
20Erasuto yabeera mu Kkolinso: naye Tulofiimo nnamuleka mu Mireeto ng'alwadde.
21Fuba okujja ebiro by'empewo nga tebinnatuuka. Ewubulo akulamusizza, ne Pudente, ne Lino, ne Kulawudiya, n'ab'oluganda bonna.
22Mukama waffe abeerenga n'omwoyo gwo. Ekisa kibeerenga nammwe.