Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Nze omukadde mpadiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi.
3Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima.
4Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.
5Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi;
6abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi:
7kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga.
8Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima.
9Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza.
10Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa.
11Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda.
12Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
13Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu:
14naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali.