Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Yuda, omuddu wa Yesu Kristo, era muganda wa Yakobo, eri abo abayitibwa, abaagalwa mu Katonda Kitaffe, era abakuumirwa Yesu Kristo:
2okusaasira n'emirembe n'okwagala byongerwengako gye muli.
3Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna, nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
4Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe okuba obukaba, ne beegaana Yesu Kristo, ye Mwami ye Mukama waffe omu yekka.
5Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga byonna mwabimanya omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.
6Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu.
7Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo.
8Naye era benkana nabo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa.
9Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyayaŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye.
10Naye abo bye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng'ensolo ezitalina magezi mu ebyo bazikirira.
11Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babulira mu kuwakana kwa Koola.
12Bano ge mayinja agatalabika mu mbaga zammwe ez'okwagalana bwe balya nammwe, abasumba abeerunda bokka awatali kutya; ebire ebitaliimu mazzi nga bitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa awabiri, egyakuulibwa n'emmizi;
13amayengo ag'omu nnyanja ageefuukuula, agabimba ejjovu ze nsonyi zaabwe bo; emmunyeenye ezikyama eziterekeddwa ekizikiza ekikutte ennyo emirembe n'emirembe.
14Era abo yabalagulako Enoki, ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'ayogera nti Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakumi,
15okuleeta omusango ku bonna, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.
16Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'akamwa kaabwe koogera ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bassaamu abantu ekitiibwa olw'amagoba.
17Naye mmwe, abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo;
18bwe baabagamba nti Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abasekerezi abatambula ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli okw'obutatya Katonda.
19Abo be baleeta okwawula, ab'omubiri, abatalina Mwoyo.
20Naye mmwe, abaagalwa, bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu,
21mwekuumenga mu kwagala kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw'obulamu obutaggwaawo.
22Era abalala mubasaasirenga ababuusabuusa;
23era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.
24Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,
25Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina.