Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
27 verses
1Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai ennyumba ya Isiraeri.
2Omuwala wa Isiraeri agudde; takyayimuka nate: asuuliddwa wansi ku nsi ye tewali wa kumuyimusa.
3Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri.
4Kubanga bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti Munnoonye, kale munaabanga balamu:
5naye temunoonyanga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temuyitanga okugenda e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kugenda mu busibe, ne Beseri kiriggwaawo.
6Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri:
7mmwe abafuula omusango okuba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu;
8munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye;
9aleeta okuzikirira ku w'amaanyi nga tamanyiridde, okuzikirira ne kutuuka ku kigo.
10Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu.
11Kale kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumukamula eŋŋaano: mwazimba ennyumba ez'amayinja amateme, naye temulizituulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu.
12Kubanga mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango.
13Omukabakaba kyaliva asirika mu biro ebifaanana bwe bityo; kubanga bye biro ebibi.
14Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeerenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera.
15Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: mpozzi Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.
16Mukama Katonda ow'eggye, Mukama kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobe biriba mu nguudo zonna engazi era balyogerera mu makubo gonna nti Woowe, woowe! kale baliyita omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe.
17Awo mu nsuku zonna ez'emizabbibu mulibaamu ebiwoobe: kubanga ndiyita mu ggwe wakati, bw'ayogera Mukama.
18Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? kizikiza so si musana.
19Kwenkana omusajja ng'adduka empologoma, n'asisinkana eddubu n'esisinkana naye: oba ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe omusota ne gumuluma.
20Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala?
21Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu.
22Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, siribikkiriza: so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo zammwe eza ssava.
23Nziyaako oluyoogaano olw'ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi.
24Naye omusango gukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogw'amaanyi.
25Mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu emyaka amakumi ana, ai ennyumba ya Isiraeri?
26Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera.
27Kyendiva mbatwaza mu busibe okuyita e Ddamasiko, bw'ayogera Mukama, erinnya lye Katonda ow'eggye.