Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
14 verses
1Zibasanze abo abeegolodde mu Sayuuni n'abo abataliiko kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasajja ab'amaanyi ab'omu ggwanga erisinga amawanga obukulu, abajjirwa ennyumba ya Isiraeri!
2Muyite mugende e Kalune mulabe; muveeyo mugende e Kamasi ekikulu: mulyoke muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombi obulungi? oba ensalo yaabwe ekira ensalo yammwe obugazi?
3Mmwe abateeka ewala olunaku olubi ne musembeza kumpi entebe ey'ekyejo;
4abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'endiga ab'omu kisibo, n'ennyana nga baziggya mu kisibo;
5abayimbira ennyimba ezitaliimu ku ddoboozi ery'ennanga; abeegunjira ebintu ebivuga nga Dawudi;
6abanywera omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obulungi; naye tebanakuwalidde kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu.
7Kale kyebaliva bagenda mu busibe wamu n'abo abaasooka okugenda mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo.
8Mukama Katonda yeerayidde yekka, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye, nti Nkyawa obulungi bwa Yakobo, ne ntamwa amayumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonna ebikirimu.
9Awo olulituuka abantu kkumi bwe balisigala mu nnyumba emu balifa.
10Era omuntu bw'anaasitulibwa kojjaawe, oyo amwokya, okuggya amagumba mu nnyumba, n'agamba oyo ali mu njuyi ez'ennyumba ez'omunda nti Wakyaliwo ali naawe? naye n'addamu nti Nedda; kale n'alyoka ayogera nti Sirika; kubanga tetuyinza kwatula linnya lya Mukama.
11Kubanga, laba, Mukama alagidde, n'ennyumba ennene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika.
12Embalaasi ziriddukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? mmwe okufuula ne mufuula omusango okuba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okuba abusinso:
13mmwe abasanyukira ekintu ekitaliiko kye kigasa, aboogera nti Tetwefunidde mayembe olw'amaanyi gaffe ffe?
14Kubanga, laba, ndibayimusizaako eggwanga, ai ennyumba ya Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda ow'eggye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga aka Alaba.