Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri;
2emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo,
3omuli obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bukwekeddwa.
4Ekyo kye njogera nti omuntu yenna alemenga okubalimbalimba mu bigambo eby'okusendasenda.
5Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.
6Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye,
7nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
8Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo
9kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli,
10era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna
11era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo;
12bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu.
13Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna;
14n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n’agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba:
15bwe yayambulira ddala obwami n’amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo.
16Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti:
17ebyo kye kisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo.
18Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe,
19so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.
20Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi nti
21Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako
22(ebyo byonna biggweerawo mu kukolebwa) okugobereranga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu?
23Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri.