Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda,
2eri abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kkolosaayi: ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe.
3Twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, nga tubasabira ennaku zonna,
4bwe twawulira okukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu, n'okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna,
5olw'essuubi eryabaterekerwa mu ggulu, lye mwawulira edda mu kigambo eky'amazima ag'enjiri,
6eyajja gye muli; era nga bw'eri mu nsi zonna, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu mmwe, okuva ku lunaku bwe mwawulira ne mutegeera ekisa kya
7Katonda mu mazima; nga bwe mwayigirizibwa Epafula muddu mu nnaffe omwagalwa, ye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaffe,
8era eyatubuulira okwagala kwammwe mu Mwoyo.
9Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n'okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by'ayagala mu magezi gonna n'okutegeera eby'Omwoyo,
10okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw'okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda;
11nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonna, ng'amaanyi ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonna n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka;
12nga mwebaza Kitaffe, eyatusaanyiza ffe omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,
13eyatulokola mu buyinza obw'ekizikiza, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omwagalwa;
14mwe tubeerera n'okununulwa, kwe kusonyiyibwa kw'ebibi byaffe:
15oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika, omubereberye ow'ebitonde byonna;
16kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n'ebitalabika, oba nga ntebe za bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonna byatondebwa ye, era ne ku lulwe;
17naye ye w'olubereberye mu byonna, era ebintu byonna bibeerawo mu ye.
18Era oyo gwe mutwe gw'omubiri, ye kkanisa: oyo lwe lubereberye, omubereberye ow'omu bafu; ye alyoke abeerenga ow'olubereberye mu byonna.
19Kubanga Kitaffe yasiima okutuukirira kwonna okubeeranga mu ye;
20n'okutabaganyisa ebintu byonna eri ye yennyini mu ye, bwe yamala okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu ye okutabaganyisa oba eby'oku nsi oba eby'omu ggulu.
21Nammwe, bwe mwali edda bannaggwanga era abalabe mu kulowooza kwammwe mu bikolwa ebibi, naye kaakano yabatabaganyisa
22mu mubiri ogw'ennyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, abataliiko mabala abatanenyezebwa mu maaso ge:
23bwe mubeera obubeezi mu kukkiriza, nga munywedde, nga temusagaasagana, so nga temuvudde mu ssuubi ly'enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa mu bitonde byonna ebiri wansi w'eggulu; nze Pawulo gye nnafuukira omuweereza waayo.
24Kaakano nsanyuse mu bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, ye kkanisa;
25nze gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe nnaweebwa gye muli, okutuukiriza ekigambo kya Katonda,
26ekyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda n'emirembe n'emirembe: naye kaakano kyolesebbwa eri abatukuvu be,
27Katonda be yayagala okutegeeza obugagga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo ye Kristo mu mmwe, essuubi ery'ekitiibwa:
28gwe tubuulira ffe, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna, tulyoke twanjule buli muntu ng'atuukiridde mu Kristo;
29n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaanyi.