Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Kale, baganda bange abaagalwa be nnumirwa omwoyo, essanyu lyange era engule yange, muyimirirenga bwe mutyo okunywerera mu Mukama waffe, abaagalwa.
2Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waffe.
3Nate era naawe, muddu munnange ddala ddala, nkwegayiridde obeerenga abakazi abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nange mu njiri, era ne Kulementi, n’abalala bakozi bannange, amannya gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.
4Musanyukirenga Mukama waffe ennaku zonna: nate njogera nti Musanyukenga.
5Okuzibiikiriza kwammwe kumanyibwenga abantu bonna. Mukama waffe ali kumpi.
6Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.
7N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.
8Ebisigaddeyo, ab'oluganda, eby'amazima byonna, ebisaanira ekitiibwa byonna, eby'obutuukirivu byonna, ebirongoofu byonna, ebyagalibwa byonna, ebisiimibwa byonna; oba nga waliwo obulungi, era oba nga waliwo ettendo, ebyo mubirowoozenga.
9Bye mwayiga era ne muweebwa ne muwulira ne mulaba gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe anaabeeranga nammwe.
10Naye nsanyukidde nnyo Mukama waffe kubanga kaakano kye mujje musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwalina bbanga.
11Si kubanga njogera olw'okwetaaga: kubanga nnayiga, embeera gye mbaamu yonna, obutabaako kye nneetaaga.
12Mmanyi okwetoowaza, era mmanyi bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonna nnayiga ekyama ekiri mu kukkuta ne mu kulumwa enjala, okuba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu.
13Nnyinzizza byonna mu oyo ampa amaanyi.
14Naye mwakola bulungi okussa ekimu n'ebibonoobono byange.
15Era mmwe, Abafiripi, mumanyi nga mu kusooka kw'enjiri, bwe nnava mu Makedoni, nga siwali kkanisa eyassa ekimu nange mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula mmwe mwekka;
16kubanga era ne mu Ssessaloniika mwaweereza omulundi gumu, era n'ogw'okubiri, olw'okwetaaga kwange.
17Si kubanga nnoonya kirabo; naye nnoonya bibala ebyeyongera ku muwendo gwammwe.
18Naye nnina ebintu byonna, ne nsukkirira: nzikuse, bwe nnamala okuweebwa Epafulodito ebyava gye muli, evvumbe eriwunya obulungi, ssaddaaka ekkirizibwa, esiimibwa Katonda.
19Era Katonda wange anaatuukirizanga buli kye mwetaaga, ng'obugagga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu.
20Era Katonda era Kitaffe aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
21Mulamuse buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nange babalamusizza.
22Abatukuvu bonna babalamusizza, naye okusinga ab'omu nnyumba ya Kayisaali.
23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga n'omwoyo gwammwe.