Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkonya nze, naye kuleeta mirembe gye muli.
2Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala:
3kubanga ffe tuli abeekomola, abasinza ku bw'Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri:
4newakubadde nga nze nnyinza n'okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga:
5nze eyakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo;
6mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa.
7Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo.
8Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo,
9era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina buruukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza:
10ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe;
11bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu.
12Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu.
13Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso,
14nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
15Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n’ekyo:
16naye kyokka, kye tutuuseeko, tutambulirenga mu ekyo.
17Ab'oluganda, mukkiriziganye wamu mungobererenga, era mulabirenga ku abo abatambula nga bwe mulina ffe okuba ekyokulabirako.
18Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo:
19enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi.
20Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo:
21aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.