Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa,
2mutuukirize essanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu nga mulowooza bumu;
3temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka;
4temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala.
5Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu;
6oyo bwe yasooka, okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda,
7naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu;
8era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba.
9Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna;
10buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi,
11era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana;
13kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi.
14Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka;
15mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi,
16nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere.
17Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna:
18era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.
19Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli.
20Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima.
21Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo.
22Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga yaweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe.
23Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyokka bwe ndimala okulaba ebifa gye ndi:
24naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu.
25Naye nnalaba nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga;
26kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala:
27kubanga okulwala yalwala yali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina.
28Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange.
29Kale mumwanirizanga mu Mukama waffe n'essanyu lyonna; era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa:
30kubanga yabulako katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.