Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Kale kino kye kiragiro, amateeka n'emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya:
2otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye nkulagira ggwe n'omwana wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi.
3Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
4Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:
5era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.
6Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo:
7era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga:
8Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby'oku kyenyi wakati w'amaaso go.
9Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo, ne ku nzigi zo.
10Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
11n'ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z'otajjuza, n'ebidiba ebyasimibwa, by'otaasima, ensuku ez'emizabibu n'emizeyituuni gy'otaasimba, n'olya n'okkuta;
12n'olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama: eyakuggya mu nsi y'e Misiri; mu nnyumba y'obuddu.
13Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
14Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde;
15kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi.
16Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.
17Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza; n'amateeka ge, ge yakulagira:
18Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajja bo,
19okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera.
20Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki?
21n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi:
22era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe:
23n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe.
24Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.
25Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe nga bwe yatulagira.