Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okulya, n'asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani; n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi;
2era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tobalaganga kisa:
3so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo.
4Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.
5Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.
6Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.
7Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna:
8naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu nnyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.
9Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;
10asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'amaaso.
11Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n'amateeka, n'emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga.
12Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo:
13era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
14Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo.
15Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.
16Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g'anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambika gy'oli.
17Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga?
18tobatyanga; onojjukiriranga ddala Mukama Katonda wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna;
19okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.
20Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba okutuusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge.
21Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa.
22Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga.
23Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go; era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira.
24Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.
25Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo:
26so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa.