Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Ebigambo eby'Omubuulizi, mutabani wa Dawudi, kabaka mu Yerusaalemi.
2Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, byonna butaliimu.
3Magoba ki omuntu gaggya mu mulimu gwe gwonna gw'akola wansi w'enjuba?
4Emirembe emirala gigenda, n'emirembe emirala gijja; ensi n'ebeerera awo ennaku zonna.
5Era n'enjuba evaayo, enjuba n'egwa, n'eyanguwa okugenda mu kifo kyayo gy'eva.
6Empewo egenda eri obukiika obwa ddyo, n'ekyukira obukiika obwa kkono; ekyukakyuka buli kaseera mu kutambula kwayo, empewo n'edda nate mu kwetooloola kwayo.
7Emigga gyonna gigenda mu nnyanja, naye ennyanja tejjula; mu kifo emigga gye gigenda eyo gye gigenda nate.
8Ebintu byonna bijjudde obukoowu; omuntu tayinza kubwogera: eriiso terikkuta kulaba, so n'okutu tekukkuta okuwulira.
9Ekyaliwo kye kinaabangawo; n'ekyo ekyakolebwa kye kinaakolebwanga: so tewali kintu kiggya wansi w'enjuba.
10Waliwo ekintu abantu kye boogerako nti Laba, kino kiggya? kyamala okubaawo mu mirembe egyatusooka.
11Tewali kujjukira mirembe egy'edda; so tewaliba kujjukira mirembe gya luvaanyuma egigenda okujja mu abo abaliddawo.
12Nze Omubuulizi nali kabaka wa Isiraeri mu Yerusaalemi.
13Awo ne nzisaayo omutima gwange okunoonya n'okukenneenya olw'amagezi byonna ebikolebwa wansi w'eggulu: bwe bubalagaze obungi Katonda bwe yawa abaana b'a bantu okubaluma.
14Nalaba emirimu gyonna egikolebwa wansi w'enjuba; era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
15Ekikyamye tekiyinzika kuluŋŋamizibwa: n'ekyo ekitatuuka tekibalika.
16Nateesa n'omutima gwange nze nga njogera nti Laba, neefunidde amagezi mangi okukira bonna abansooka mu Yerusaalemi: weewaawo, omutima gwange gwalaba nnyo amagezi n'okumanya.
17Ne nzisaayo omutima gwange okumanya amagezi n'okumanya eddalu n'obusirusiru: nalaba nga n'ekyo kwe kugoberera empewo.
18Kubanga mu magezi amangi mulimu obuyinike bungi: n'oyo ayongera okumanya ayongera okulaba ennaku.